Ekikangabwa e Namungoona: Ekikomera kigudde ne kitta omwana
Ekikangabwa kigudde e Namungoona mu gombolola ye Lubaga ekikomera kya muliranwa bwe kigudde ne kkuba ennyumba omubadde abaana babiri okukakana nga omu ow’emyaka ebiri afudde , ow’emyaka enna n’atwalibwa nga biwala ttaka.
Omwana afudde ye Ayiman Kasirye , songa asimatuse ye Shaban Ngoobi nga bano babade basula ne jajjaabwe Nuuman Gita.