Abatuuza ku kizinga ky'e Bunjako basobeddwa: Amazzi gasazeeko ekkubo lyabwe n'amayumba
Abatuuze ku kizinga ky’e Bunjakko n'abakozesa oluguudo olugatta ekizinga kino ku lukalu mu ggombolola y'e Buwama bali mu kutya olw'amazzi okusalako oluguudo lwabwe lwokka lwe bakozesa okusomoka.
Bagamba kivudde ku nkuba efukumuka sso nga n'ennyanja Nalubaale ebimbye.