Abakugu baliko okulabula kwe bakoze mukubuusa omwana ekibiina
Oluvanyuma ly’emyaka 2 nga abaana batudde waka tebasoma olw’ekirwadde ki Covid - 19, kwamuli okusoomozebwa okutagambika – kati bangi kubaana baagenda okudda ku masomero nga bakuze ebitagambika. Bangi ku bazadde baasalawo abaana baabwe bababuuse ebibiina era nga kino kyeyolekera nyo mu bigenzo by’eky’omusanvu ebyatuulwa omwaka oguwedde. Kati nannabyanjigiriza n’abatunuulira embeera z’abantu balabudde akabaate akayinza okubaawo mu bayizi bano ababuusiddwa ebibiina.