Okwetegekera okulonda kwa 2026: Mu ANT Gen. Mugisha Muntu yeyeesowoddeyo
Abakulu mu kibiina ki Alliance for National Transformation basunsudde Gen. Mugisha Muntu, ng’omu kwabo abeegwanyiza okukwatira ekibiina kino bendera okuvuganya ku bwa pulezidenti mu kulonda kwa 2026. Mu kaseera kano tewannabaayo mulala avaayo kwegwanyiza kifo kino mu kibiina kino ki ANT newankubadde nga akadde kakyaliyo eri abo abaagala okulaga obusobozi bwabwe okutuusa ku Sande ya sabiiti eno. Muntu atugambye nti newankubadde avuddeyo okweyagaliza obuvunanyizibwa buno, bakyali mu nteseganya ne bannaabwe okuva mu People’s Front for Freedom n’ebibiina ebirara, okulaba nga beelondako omuntu omu yekka avuganye ku kifo kino.