Waliwo abatiisizza okwabulira NRM olw’emivuyo mu kamyufu
Abamu ku baawanguddwa mu kamyufu k’ekibiina ak’obwa ssentebe bwa disitulikiti e Mubende baagala Ssentebe w’ekibiina kyabwe mu gwanga Yoweri Museveni akole ku kwemulugunya kwabwe mu bwangu ngawatali ekyo boolekedde okwegatta ku ludda oluvuganya gavumenti. Bano balumiriza abebyokulonda mu kibiina okudibaga ebyokulonda omuli n’okukyusa ebivudde mu kulonda. Bano era bagala nakulira akakiiko kebyokulonda mu kibiina kya NRM mu gwanga Tanga Odoi alekulire olw’emivuyo gino .