OKUWANDIISA ABAKOZI MU NSSF:Abakozesa abatannakikola baweereddwa omwezi gumu
Abakozesa abatannawandiisa bakozi baabwe okubasasulira omutemwa gwabwe eri ekittavu ky’abakozi ki NSSF baweereddwa omwezi gumu okuva kati okukikola oba ssi kyo baakusasula engassi ya bitundu 10% ku nsimbi zebalina okusasula. Akulira NSSF ow’ekiseera Patrick Ayota agamba kino kigendereddwamu kuteekesa mu nkola ennongosereza mu tteeka lya NSSF eppya eriragira buli mukozesa okusasulira abakozi ensimbi eri NSSF awatali kwesigama ku namba y'abakozi abali mu kampuni.