Wuuno gy’envudde wa Rwashande, munnamagye asuza Ssekikubo ku tebuukye
Okulonda kwa 2026 mu kitundu ky'e Sembabule kuzze kulaga obubonero nti kwandiba okw'obunkenke ddala. Embiranye eri nnyo wakati wa Brig. Gen. Emmanuel Rwashande ne Theordre Ssekikubo ababbinkanira ekifo ky'e Lwemiyaga. Bangi bazze bebuuza Rwahsande ono y'ani era yavawa okutuuka okusuza Ssekikubo nga akukunadde nga lumonde mu kikata. Getrude Mutyaba, eky'okuddamu akirina.