Ono amaze emyaka 14 nga bamusengejjamu omusulo mu musaayi | OBULAMU TTOOKE
Okusengejja omusulo okuguggya mu musaayi gw'omuntu mu lufuutifuuti ekiyitibwa Dialysis y'emu ngeri y'okujjanjabamu abantu abalina obulwadde bw'ensigo. Kyokka enzijanjaba eno erimu okusomoozebwa naddala eri abalwadde abagikozesa olubeerera oluvannyuma lw'ensigo zaabwe okunafuyira ddala. Mu bulamu ttooke tukuleetedde Derrick Mutebi nga yaakamala emyaka 14 ngali ku nzijjanjaba eno. Ono ensigo ze okutuuka okunafuwa kyava ku bulwadde bwa sukaali.