Omusumba Jumba aliko b’awadde emiruka gy’obuweereza
Omusumba W’essaza ly’e Masaka Serverus Jjumba avumiridde ebyobufuzi ebyokwawulayawula n’okusiga obukyayi mu bantu. Jumba asinzidde ku lutikko e Kitovu gyagweredde emiruka gy’obuweereza egyobudgyankoni n’obusaseredooti. 10 be bafunye obusaseredooti so nga 19 bafunye obudyankoni.