OKWEMULUGUNYA KU KAMYUFU: Waliwo abaagala akakiiko ka NRM kagende ku ‘ground’
Abamu kubannakibiina ki NRM abawangulwa mu kamyufu k’ekibiina ku mutendera gw’ababaka ba palamenti baagala akakiiko okusooka okugenda mu bitundu ewaliwo okwemulugunya basobole okuzuulira ddala ekituufu ekyaliwo. Bagamba nti kino kyakuyambako akakiiko okufuna obujjulizi obwessimba ku misango jino nga tenawa nsala yaayo.