OKULUMIZIBWA MU NSONGA: Manya obulumi kw’olina okulabira nti waliwo ekitali kituufu
Waliwo Abawala n’abakyala abafuna obulumi obwamaanyi nga bagenze mu nsonga zaabwe ez’a buli mwezi. Kyokka emirundi egisinga, obulumi buno butwalibwa ng’obwabulijjo era ne bujjanjabwa mu bukyamu. Wabula okusinziira ku bakugu, waliwo obubonero omukyala kw’alina okulabira nti obulumi bwayitamu ngali mu nsonga ze si bwe bwabulijjo era nga yeetaaga okufuna okuyambibwa okwenjawulo. Olwaleero tukuleetedde emboozi ya bitundu bisatu ekwata ku lugendo lw’abakyala babiri abayiseeko mu mbeera y’okulumizibwa okwamaanyi nga bagenze mu nsonga.