Okutyoboola eddembe ly’obuntu mu Wakiso: Abasinga okunyigirizibwa bakyala na baana
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye bannabyabufuzi okukomya okukozesa obuyinza ne wofiisi zaabwe okunyigiriza n'okutyoboola eddembe ly'obuntu naddala mu kaseera ketwolekedde ak'eby'obufuzi. Katikkiro okwogera bino abadde ku kitebe kya district ye Wakiso bwabadde atongoza alipoota ku ddembe ly'obuntu. Okusinziira ku alipoota etongozeddwa, ekibba ttaka n'okutulugunya abaana bikyali waggulu mu Wakiso, songa yyo gavumenti enokoddwayo ng'ensaale mu kulinyirira eddembe ly'obutu.