Okukwatira NUP bendera: Okusunsula kwa bbalaza ya wiiki ejja
Akakiiko akakola ku by'okulonda mu kibiina ki NUP ka Electoral Management Committee kongezzaayo ebanga ly’okuwandiisa abeegwanyiza okukwatira ekibiina bendera mu kulonda okujja. Kiddiridde ekitongole ekivunanyizibwa ku matendekero agawaggulu okukandaaliriza okukakasa ebiwandiiko ky’abamu ku bantu baabwe. Wabula akakiiko kategeezezza ng’enteekateeka z’okusunsula abaasooka okuteekayo empapula zaabwe bwezigenda okutandika ku balaza ya sabiiti eggya.