Okukwatira NRM bendera, abeegwanyiza ebifo batandise okuggyayo empapula
Akakiiko k’eby’okulonda mu kibiina ki NRM olwaleero katandise okukwata empapula za bannakibiina abeegwanyiza okukwatira ekibiina bendere mu kulonda kwa 2026 okusemberedde. Kyokka abakulira akakiiko kano bannakibiina okwewala obuvuyo mu kalulu kano, bakulembeze nnyo enono z’ekibiina. Tukitegedde nti entekateeka zino za kukomekkerezebwa nga 15th omwezi guno.