OKUKUNGUBAGIRA OULANYAH: Ababaka baguze bow tie nga beetegekera okumusabira e Kololo
Nga emu ku ngeri yakussa ekitiibwa mu abadde sipiika Jacob Oulanyah abamu ku babaka ba palamenti basazeewo olunaku lwenkya okwambala bow ties ezettanirwa nga ennyo omugenzi. Olwaleero ettaayi zino zibadde zattunzi nyo ku palamenti nga n’abamu baziguze okusinziira ku langi y’ebibiina byabwe.