Obuwagizi eri NRM, ababaka mu Buganda bakunze abantu be Gomba
Ekibbattaka ky'ekimu ku binokoddwayo ng'ebiviiriddeko ekibiina ki NRM okusereba mu buwagizi mu disitulikiti ye Gomba era ng’okusinziira ku babaka ba NRM mu buganda, kyetaaga okunogera amangu eddagala nga nakalulu akajja tekanaatuuka. Okusinziira ku bakulembeze mu kitundu kino ekibbattaka kino kisajjuddwa abeeyita abanene mu Gavumenti, ekittattanye ennyo ekibiina kino ekiri mu buyinza. Mu lukungaana lw'okuzza obuwagizi eri ekibiina olwakubiddwa mu kitundu kino akawungeezi k'eggulo, Minisita w'ebyettaka Judith Nabakooba yeeyamye okukola ku nsonga eno.