NAGGIRINYA NE KITAYIMBWA: Isaac Ssenabulya akkiriza eky’okwenyigira mu kuwamba n’okubatta
Isaac Ssenabulya Omu ku bantu omusanvu abawerenemba n'ogwokutta Maria Nagirinya ne dereeva we Ronald Kitayimbwa akkirizza eri kkooti enkulu nti ye ye yatta ababiri bano.
Ssenabulya akkirizza emisango okuli obutemu, okuwamba n’okubbisa eryanyi era naasaba kkooti eno emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu. Kyokka oludda oluwaabi lwagala ssenabulya asalirwe gwakufa olw'okutta abantu abatalina musango.