Munnamawulire wa Vision Group e Bunyoro Joseph Baguma afudde
Bannamawulire mu kitundu kye Bunyoro bali mu kusoberwa. Kiddiridde munaabwe ng’abadde akola ne Vison Group Joseph Baguma okufa. Baguma yafudde kibwatuukira nga kigambibwa nti abadde nekirwadde kya Pulesa.