Kabuleta alabiseeko mu kkooti, asindikidwa e Luzira
Eyavuganyaako ku bwa Pulezidenti era nga yakulira ekibiina ki National Economic Empowerment Party oba ( NEED) Joseph Kabuleta asiimbiddwa mu kkooti e Nakawa olwaleero nasomerwa emisango omuli egyokwawulayawula mu mawanga naddala abanyarwanda, abahima n'abahima . Ono asindikiddwa mu kkomera e Luzira okutuusa nga 14 omwezi ogujja . Omulamuzi Neumbe Ritah Kidasa aomutegeezeza nga bwabadde tasobola kuwulira kusabakwe okwokweyimirirwa kubanga abadde nemirimu gya kkooti emirala . Kabuleeta nemunnamatteekawe Remmy Bagenda bakubiriziddwa okulinda ensonga zino lwezinaddamu okuwulirwa nga 14th/December omwaka guno okusaba okweyimirirwa .
Bano bakaze kusaba mulamuzi akirizibwe okweyimirwa kubanga aliko eddagala lyabadde alina okumira , kyabadde tanakola okuva lweyakwatibwa nga buterere. Kabuleta yakwatibwa okuva ku wofiisi ye E Bugoloobi ku bbalaza ya ssabiti eno ku misango gino gyagambibwa okuza nga 30 May omwaka guno.