Jimmy Akena asunsuddwa okukwatira UPC bendera
Abakulira eby’okulonda mu kibiina ki Uganda Peoples Congress bakakasiza nga Jimmy Akena ne Dennis Adim Enap bwe basunsuddwa ng’abagenda okuvuganya ku kifo ky’obwa pulezidenti bw’ekibiina mu kulonda okubindabinda. Bano batubuulidde nti nga batambulira mu kulambikibwa kwebagoberera nga batekateeka abakulembeze abaggya- bazze bekeneenya abagala enyebe enene mu kibiina kino, okutuusa lwe basigazza amanya ga bantu babiri bokka.Okulangirira kuno kukoleddwa akulira akakiiko kebyokulonda mu kibiina kino Hajji Mahmoud Kazimbiraine.