EGGAALI MU KYAMYUFU: Abagikulembera bagamba bakolagana n’abebyokwerinda
Waliwo abalabudde nti eggwanga lyandigwa mu katyabaga naddala mu biseera byakalulu ka 2026 singa ebibinja by'abavubuka ebyakazibwako eggaali tebikolwako mu bwangu. Abavubuka mu bibinja bino bazze balabwako mu bifo awalonderwa mu kamyufu ka NRM nga bagezaako okulungamya abalonzi. Kyokka abamu ku bakulira ebibinja bino bagamba nti bye bakola bimanyiddwa abebyokwerinda be bagamba nti be babasindika okuyambako okunyweza obutebenkevu n'emirembe.