Charles Twiine aguddwako emisango n’omuwagizi wa NUP ‘Noah Mutwe’
Charles Twiine nga mbega wa poliisi abadde aludde nga kirowoozebwa nti yawambibwa, aludde ddaaki n'alabikira ku kkooti ya Buganda era naggulwako emisango gy'okusendasenda omuwagizi wa NUP Noah Mitala eyeeyita Noah Mutwe okudda ku mukulembeze w'eggwanga ne mutabani we n'abavuma kko okusiiga amannya gaabwe enziro.Noah Mutwe ne Twiine bombi abantu baabwe baludde nga babanoonya nga kirowoozebwa nti baawambibwa abakyamu okumala kumpi wiiki nnamba