Akamyufu ka NRM: Waliwo abawakanyizza ebyalangiriddwa
Webwawungeredde olunaku olw'eggulo nga bannakibiina ki NRM bagumbye ku bifo awaabedde walangirirwa ebyavudde mu kulonda okwabaddewo olunaku olw'eggulo. Newankubadde okulonda kwabadde kwa mirembe okutwaliza awamu, mu kadde k’okulangirira waliwo abavudde mu mbeera nebatuuka n’okuwakanya ebyavudde mu kulonda. Abasasi baffe abaabadde mu bitundu bye ggwanga eby'enjawulo baliko bye batukunganyirizza.