Akakiiko akaatekebwawo okuwulira okwemulugunya ku byava mu kamyufu ka NRM katandika sabiiti ejja
Akakiiko akabantu 29 akagenda okuwulira okwemulugunya kwabo abeetaba mu kamyufu k’ekibiina ki NRM tukitegedde nti kagenda kutandika egyako mu butongole ku lwokubiri lwa sabiiti ejja. Bano batubuulidde nti okuva mu kulonda okwaliwo nga 17th baakafuna emisango 381 egyava mu bantu abatakkiriza byava mu kulonda olw’ensonga ezenjawulo. Akakiiko kano tekateereddwako muntu yenna okuva mu kakiiko k’eby'okulonda aka NRM, okwewala okwerariikiriza.