Abatuuze bataamide Gen. Kayanja, bamuvunaana kuwamba kitundu ku ttaka ly’omwalo
Munnamaggye Maj.Gen Elly Kayanja kyaddaki agasimbaganye n'abatuuze ku mwalo gwe Ddimo abamulumiriza okusiba akatimba ku tundutundu ku ttaka ly'omwalo guno.Gen Kayanja abuulidde abatuuze nti ettaka lino eriwezaako yiika 78 lirye bwoya wadde nga n'abe kitongole ky'ebibira bawera nti bamutwala mu kooti olw'okozesa ekifo kye mu gavumenti nawamba ettaka ly'ebibira.Kati Omubaka wa President e Masaka Janat Mulindwa agambye nti bagenda kutuula ne N.F.A babasabe bakirize enteekateeka y'okuzimba ekyuuma kya mukene okugenda maaso nga bwebagonjoola ensonga y'obwananyini ku ttaka lino.