UNATU eganye ssentebe we Nakaseke okudamu okutuza abasomesa ebibuzo
Ab’ekitongole ekitaba abasomesa ki UNATU bagamba nti bakuwalawala Ssentebe wa District y’e Nakaseke Ignatius Koomu bamutwale mu mbuga z’amateeka singa tava ku byakuswaza basomesa ng’abakozesa ebigezo.
Okuzinziira ku Ssabawandiisi wa w’ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga ki UNATU Filbert Baguma, ebikolwa bya Koomu bikyamu era bimenya mateeka, nti singa tabiyimirize bagenda kumutwala mu mbuga ng’omuntu.