Twetaaga kutulombera duwa: Aba NUP basabye abasiramu okubasabira
Abakulembeze b’ekibiina ki National Unity Platform basabye abayisiramu ku muzigiti ggwe Dinia e Kabowa okubalombera ekibiina kyabwe e Duwa kisuuke omuyaga gwe kiyitamu ensangi zino.
Bagamba nti balengedde akabaate mu kibiina kyabwe singa tebafuna bukuumi bwa mukama , kwekusalwo okudukira eri bannadiini.
Omubaka omukyala owa kampala Shamimu Malende bano abwadde ebintu ebyenjawulo okubayisa mu kisiibo.