KAMPEYINI Z’AKAMYUFU: NUP ekukkulumidde abebyokwerinda okuba ne kyekubiira
Ab'ekibiina ki National Unity Platform bakukkulumidde abebyokwerinda be bagamba nti balimu kyekubiira bwekituuka ku nkungaana z'ebyobufuzi. Bano bagamba nti ku nfunda nnyingi Poliisi ezze eremesa enkungaana zaabwe ez'okukunga obuwagizi mu bannakibiina wabula ate nereka aba NRM abanoonya akalulu mu bannaabwe okukuba kkampeyini nga tewali abakuba ku mukono.