EFFUJJO MU KKAMPEYINI: Byakagaba asabye abeesimbyewo okwekomako
Aduumira Poliisi mu ggwanga Abbas Byakagaba asabye banna NRM abavuganya ku bendera y'ekibiina ku bifo ebyenjawulo okwettanira emirembe nga banoonya akalulu. Ono alabudde abeenyigira mu ffujjo eriyinza okuvaako obutabanguko mu ggwanga, nabajjukiza ng'omukono gwamateeka bwe gutagenda kubataliza Okwogera bino Byakagaba abadde mu disitulikiti ye Rukungiri gyasisinkanidde abakulembeze n'abebyokwerinda ku nsonga z'ebyokwerinda. Ensisinkano eno yetabiddwako ne Minisita w'ebyobutebenkevu Jim Muhwezi.