Tugenda kubateekako eriiso ejjoji: E Buyende aba mukene bakkiriziddwa okuddamu okuvuba
Libadde sanyu ku mwalo gw’e Bukungu mu disitulikiti ye Buyende oluvanyuma lw’omuduumizi w’eggye erirywanyisa envuba embi mukitundu kino okubakkiriza okuddamu okuvuba mukene.Kino kiddiridde okwekalakaasa okwabaddewo olunaku lw’eggulo abavubi bwebalaaza obutali bumativu okugaanibwa okuvuba mukene nga ate waliwo abalabibwako nga bamuvuba.Lt. Col.Mercy Adatuhairwe alagidde abavubi bano okuddamu okuvuba wabula nga bagoberera amateeka n’obukwakulizo obwabalambikibwa.Kyoka abalabudde nti singa wabeerawo akawatibwa n’empuuta ento nga yeerimbise mukuvuba mukene baakuddamu okuwerebwa.Katubalabe.