TETULINA MAZZI MAYONJO: Ab'okukanzinga e Bugaaya beevuma abakulembeze
Abatuuze b’okukizinga ky’e Bugaya mu disitulikiti y’e Buvuma bakukkulumidde abakulembeze babwe olw’okulemwa okubawa amazzi amayonjo gebaabasuubiza.
Bagamba nti essuubi baalirina mu project y’amazzi eya Mubaale eyakolebwa disitulikiti, kyokka ekyennaku baakoma kujitongoza nga n’okutuusa kati tevangamu yadde ettondo ly’otuzzi