RDC E KAMULI AGGADDE ESSOMERO :Abazadde n'abasomesa bakiise ensingo
RDC w’e Kamuli Robert Mutemo agaddwo essomero lya Kagumba Seed School ekitasanyusiza batuuze n’abasomesa ku kiragiro kya RDC ono. Ono bw'amaze, abayizi ababadde mu ssomero lino abalagidde bagende mu ssomero lya Bishop Bamwoze SSS oba mu masomero amalala agabali okumpi basobole okuzimba essomero lino. Abazadde bagamba nti kino akikoze mu mutima mukyamu olw’ebigendererwa bye.