Okwonooneka kw'oluguudo mu Lwera ba yinginiya obuzibu babuteeka ku bonoona entobazi
Ekitongole ekigatta ba yinginiya mu gwanga ki Uganda Institute of Professional Engineers kyagala ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi ki NEMA okulungamya emirimu egyikolebwa mu lutobazi lwa Lweera kyebagamba nti kyekivuddeko oluguudo lw’e Masaka okwonooneka entakera. Bagamba nti okudaabiriza oluguudo luno tekigenda kuyamba okujjako nga abantu bano bakomeddwako. Ate yye minisita w’eby’entambula mu ggwanga Gen. Katumba Wamala wadde nga naye ekkiriza nti obuzibu bwabantu abefunyiridde okwonoona obutonde bwensi mu Lwera, naye baakuteekamu ebigoma ebinene ebitwala amazzi amangi.