Abaakasunsulwa okukwata bendera y’ekibiina kya Democratic Front baweze 287
Ekibiina ki Democratic Front kati kiwezezza abantu 287 beyakasunsula okukikwatira bendera ku bifo ebitali bimu ku kalulu ka 2026.Mu bazze olwaleero mwemubadde n'omubaka wa munisipaali y'e Ntebe Michael Kakembo Mbwatekamwa.Akulira ekibiina kino Mathias Mpuuga asabye abawagizi b'ekibiina ono okumwesiga kubanga obukulembeze bwe akizudde nti bwa mazima obutayuuzibwa muyaga .