Poliisi eyodde 30 e Nabingo, enoonya bazadde baabwe
Poliisi etandise okunoonyereza okuzuula bazadde b’abaana abasukka mu 30, abayooleddwa mu bitundu bye Nabingo mu kikwekweto kyekoze ng’eri wamu n’abakulembeze.Abaana bano balowoozebwa okuba nga bava mu bitundu okuli Gulu, Teso, Kamuli, Jinja n’awalala era nga baaletebwa mu kitundu kino nga baasuubiziddwa emirimu egitaliiyo.Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire agamba nti abaana bano baabafera okubafunira emirimu n’ekigendererwa eky’okuggya ssente mu bazadde baabwe.