Abawagizi ba Uganda cranes basiibye beesunga, Museveni asuubizza ssente buli mupiira oguwangulwa
Mu ssaawa emu okuva kati, ttiimu y'eggwanga the Cranes ey'abagukyangira ewaka yakuyingira mu nsiike okuzannya omupiira gwayo okugenda okusooka mu mpaka za CHAN.Abawagizi batandise okweyiwa ku kisaawe ku ssaawa munaana so nga n'akalipaggano nako kabadde kangi olw'enguudo ezimu ezeetolodde ekisaawe okusalibwako.SHARIFAH NAMBI bakira ali eyo nga yeetegerezambeera.