Okuwandisa abalimi b'emmwanyi kutandise
Minisitule yeby’obulimi nga eri wamu ne kitongole ekikola ku by’emmwanyi mu ggwanga ki Uganda Coffee development Authority batongozza kaweefube w’okuwandiisa abalimi be mmwanyi obutasukka nga 30 December omwaka guno. Kino kigidde mu kadde ng’omukago gwa bulaaya kyegujje guteeke obukwakkulizo ku mmwanyi eziva mu Africa, okuwerekerezebwako obukafu obulaga nti tezaalimwa mu bitundu awaali okusanyizibwawo kw’ebibira. Minisita we byobulimi Frank Tumwebaze atubuulidde nti kino tekiriiko wadde akakwakulizo, ekigendererwa ekikulu kugaziya katale ka mwanyi za uganda mu mawanga ga bulaaya.