OKUGEMA POLIO KUTANDISE : Abazadde abamu bakwese abaana baabwe
Gav’t etandise okugema abaana Polio okwekikungo okwetoolola eggwanga. Okusinziira ku ateekerateekera minisitule y’eby’obulamu Dr. Diana Atwine ategeezeza nga olunaku olusoose bwerutambudde obulungi. Ono akubiriza abazadde n’abakulembeze okwetanira enteekateeka eno okulwanyisa ekirwadde kino.