NJAGALA MWANA WANGE : Omuwala gw'ebawambako omwana atabukidde balamu be
Brenda Kamusiime omutuuze w’e Mpererwe mu Kawempe y’avudde mu mbeera, n’atwala ab’oluganda lwa bba mu b’obuyinza nga abavunaana ku kweka mwana we ow’omwezi ogumu. Kamusiime agamba olwazaala omwana we nebamumujjako nga bagamba ewabwe baavu tebasobola kumulabirira kwekuddukira mu b’obuyinza abavunaanyizibwa ku songa za maka e Kawempe okuyambibwa. Ssenga w’omwana akwatiddwa okutuusa lwaleese omwana nebamuwa nyina.