Embalirira ya Buganda eya 2025-26 yakussa essira ku bavubuka eby’obulimi n’ebyenjigiriza
Obwakabaka bwa Buganda buyisizza embalirira ya buwumbi bisatu mu butaano mu obukadde bitaano n’ezigwamu ey’omwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 ng’essira ligenda kussibwa ku kutumbula embeera z’abavubuka, eby’obulimi saako n’ebyenjigiriza naddala mu baana abato.Bibadde mu lukiiko lwa Buganda olutudde enkya yaleero era Katikkiro bw’abadde ayogerako eri abakiise ategeezezza nti obwakabaka bwetegefu okuwagira bannabyabufuzi abategeera ensonga za Buganda kwetambulira.