Eby’ekyapa kya Nakibuuka, ab’ekika kye baddukidde wa Ssaabasumba ne Katikkiro
Ab’ekika ky'omugenzi Maria Tereza Nakibuuka eyaleka alaamye obutamuziika okutuusa nga ekereziya ewaddeyo ekyapa kye yagiteresa, batutte okwemulugunya eri ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere ssaako ne Katikkiro wa Buganda nga baagala bayingire mu nsonga zino omuntu waabwe asobole okuziikibwa.Nakibuuka leero awezezza ennaku musanvu enzijuvu bukya afa wabula nga tannaziikibwa ekitadde akazito ku b'enganda ze abagamba nti tebakyalina na kye baliisa bakungubazi.Ronald Senvuma y'agoberedde ensonga eno.