Manya amateeka: Okusasulira obulagajjavu bwabakulembeze
Emirundi mingi ebidduka by’abantu bizze bifuna obuzibu obwenjawulo ku makubo, okukakkana nga bikoze obubenje naye nga oluusi kuva ku buzibu bwa kkubo eriba mu mbeera embi.
Embeera yeemu n’abantu abagwa mu myala oba ebinya mu nguudo ne bafuna obuzibu.
Leero mu Kanyomero ka Manya Amateeka olwaleero twagala kumanya etteeka kyerigamba ku muntu afunye obuzibu n’amakubo mu ggwanga oba naye alina wayinza okwegyirako omusango.