Eddwaliro ly'e Kawempe lyagala kudduukirirwa
Ateekatekera minisitule y’eby’obulamu Dr. Diana Atwiine asabye minisitule y’eby’ensimbi okubongera ku sente basobole okutambuza obulungi emirimu gyabwe. Kino kivudde ku butono bw’abasawo mu ddwaliro ly’e Kawempe ate nga abakyala abazaala bangi ddala. Okwogera bino Atwiine abadde ku ddwaliro e Kawempe bwabadde akwasibwa maama Kit ezeyambisibwa abakyala abazaala ezibaweereddwa Stanbic Bank.