Eddembe ly'abakyala: Bannakyewa bagamba batulugunyizibwa
Ebitongole by’obwannakyewa ebirwanirira eddembe ly’obuntu naddala mu bakyala biraze obwenyamivu olw’okunyigirizibwa kwebiyitamu nga bikola emirimu gyabyo nga bagamba nti kituuse n’okulemesa bannabwe abamu okugenda mu maaso n’omulimu gwabwe.
Bano bagamba nti ng’ojjeeko okutulugunyizibwa n’okutiisatiisibwa, n’emisango gyebatwala mu b’obuyinza nagyo tegiweebwa bwenkanya.
Bino bituukiddwako ab’ekitongole ky’obwannakyewa ki Alliance of Women Advocating for Change (AWAK ) bwekibadde kisisinkanye ebitongole ebirala ebirwanirira eddembe ly’abakyala okubasomesa ku ngeri gyebayinza okukolamu obukungi emirimu gyabwe.