Eby’enjigirza mu baliko obulemu, waliwo ebitabo ebifululiziddwa okubirambika
Minisitule y’eby’enjigiriza n’ebitongole binakyewa ebirwanirira eddembe ly’abaana abaliko obulemu n’ab’eby’enjigiriza batongoza ekitabo ekigenda okugobererwa mukusomesa abaana abaliko obulemu n’ekigendererwa eky’okutumbula eby’esoma byabwe. Kino kikoleddwa oluvanyuma lwebyava mu bigezo ebyatulibwa omwaka oguwedde okulaga nga abaana abaliko obulemu bwebakola obubi dala. Ekitabo kino kyakugabibwa mu masomero okulambika abasomesa mu ngeri gyebalina okusomesaamu abaana bano.