EBIMOTOKA BITUMAZEEKO EMIREMBE :Abakolera e Nabyewanga ba byekokola
Abatuuze b’e Nabyewanga ku luguudo lw’e Masaka, basobeddwa olw’ebimotoka ebitikka omusenyu okuboononera ekkubo. Bagamba nti emmotoka zino zitikka omusenyu okuva mu Lwera, neziguyiwa mu maaso g’amaduuka gabantu ekyonoonye bizinensi zaabwe.