E Wakiso eby'obufuzi bitabudde omukolo gw'abakyala
Poliisi n'amagye biyitiddwa okutaasa embeera wakati wa banna NUP ne NRM ababadde bazze ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abakyala olwategekeddwa disitulikiti y’e Wakiso e Mende. Obuzibu buvudde ku kalabalaba w’omukolo guno abadde tawa bannakibiina ki NRM mukisa kwogera okujjako aba NUP bokka okukakana nga RDC abiyingiddemu era ekiddiridde kubadde kuwanyisiganya bisongovu.