E Mpiji abatuuze beekubidde enduulu, nnyini ttaka ababinise ensimbi z'okwegula
Abatuuze ku byalo ebisoba mu kumi na bibiri mu muluka gwe Kanyike mu gombolola ye Kamengo e Mpigi bekubidde endulu eri abakulembeze babwe okubataasa ku bananyini ttaka ababadde babagerekedde sente empitirivu okusobola okwegula ku ttaka kwe bali.
Bagamba basabibwa obukadde obusoba mu kumi na butano okwegula buli yika kyoka nga abamu tebaweeza yade yika.
Abakulembeze ba disitulikiti bayingidde mu nsonga zino.