BANNAKYEWA BEEMULUGUNYIZZA KU GAV'T: Ensimbi eziteekebwa ku nsonga z'abaana ntono ddala
Ebibiina by’obwannakyewa ebikola ku nsonga z’abaana biriko alipoota gyebikoze ne bizuuka nga ensimbi eziteekebwa mu mbalirira y’e ggwanga ez’okukola ku nsonga z’abaana bweziri entono ddala. Okunoonyereza okwakoleddwa aba Afri-Child ne Children Fund International ne kizuuka nga ensimbi ezitasukka 1% ku mbalirira ye ggwanga zeziteekebwa mu byanaana. Minisitule y’e kikula ky’abantu egamba nti egenda kwetegereza alipoota eno, egyesigameko mu kugonjoola ensonga eno.