Bannakyewa batubuulide lwaki gav't yabefuulidde
Bannakyewa abalwanirizi be ddembe ly’obuntu batubuulidde nti newankubadde gavumenti enakuwalira obuli bwenguzi mu ggwanga, kizuuse nga tenatuuka ku ssa ligirwanyisa. Bagamba nti ekyokukwatibwa kwa bavubuka abasoba mu 50 olunaku lweggulo , kyoleka nti gavumenti olutalo lwenguzi erumanyi naye nga ekyokkwata abagyenyigiramu ekitiira ddala Kyoka balabudde nti singa mpaawo kikolebwa ebyokwekalakaasa mu mirembe biyinza okukoma, okuyiwa omusaayi nokwonoona ebintu ne kugoberera.